Isaiah 49:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Nakwanukula mu budde obw'omukisa, nakuyamba ku lunaku olw'obulokofu; nakutaliza ne nkussaawo obeere endagaano eri abantu, obbule ensi, ogabanye obusika obufuuse amatongo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba. Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “ Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu; era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasiriramu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okununulirako. Ndikukuuma ne nkutaasa, era ndiyita mu ggwe okukola endagaano n'abantu bonna. Olibbulula ensi, n'oddamu okugaba ebitundu byayo, ebyalekebwa awo ettayo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkwanukulidde mu biro eby'okukkirizibwamu, era nkuyambye ku lunaku olw'okulokokeramu: era ndikuwonya ne nkuwaayo okuba endagaano eri abantu, okugolokosa ensi, okubasisa obusika obwazika: