Isaiah 49:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogambe abasibe nti: ‘Muveeyo,’ n'abali mu kizikiza nti: ‘Mweyoleke.’ Banaaliiranga ku makubo, ku busozi bwonna obwereere kwe kunaabeeranga amalundiro gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'obuulira abo abasibiddwa nti, Mufulume; abo abali mu kizikiza nti, Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi enjereere kwe kunaabanga amalundiro gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ogamba abasibe nti: ‘Mufulume ekkomera,’ n'abo abali mu kizikiza nti: ‘Mujje mu kitangaala.’ Baliba ng'endiga ezifuna kye zirya ne mu makubo mwe ziyita, era ezirina amalundiro gaazo ku nsozi nnyingi ezeetadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'obuulira abo abasibiddwa nti Mufulume; abo abali mu kizikiza nti Mwerage. Banaaliiranga mu makubo, ne ku nsozi zonna ez'obweru kwe kunaabanga amalundiro gaabwe.