Isaiah 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka nnyimbire mwagalwa wange oluyimba lw'ow'omukwano olukwata ku nnimiro ye: “Omwagalwa wange yalina ennimiro y'emizabbibu ku lusozi olugimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu ku lusozi olugimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ka Nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Omwagalwa wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ka nnyimbire muganzi wange oluyimba olufa ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Muganzi wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyimbire muganzi wange oluyimba olw'omwagalwa wange ebigambo by'olusuku lwe olw'emizabbibu. Muganzi wange yalina olusuku olw'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo: