Isaiah 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiika ekkumi ez'ennimiro y'emizabbibu zirivaamu bbati emu yokka ey'evviini; ne komeri ey'ensigo erivaamu efa emu yokka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu, n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi (10), eneevangamu ekibbo kimu, ne kisero ky'ensigo kinaavangamu akabbo kamu kokka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi, eneevangamu ekibbo kimu. N'ekisero ky'ensigo, kinaavangamu akabbo kamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensuku ez'emizabbibu kkumi zinaavangamu ekibbo kimu, n'ogusera ogw'ensigo gunaavangamu ekibbo kimu kyokka.