Isaiah 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abakeera ku makya ne bagenda okunoonya omwenge, ne babeera eyo okutuusa obudde okuziba, okutuusa ng'evviini ebakoleezezzaamu omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abakeera enkya ku makya banoonye ekitamiiza, abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde, okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abakeera enkya ku makya okunoonya ekitamiiza; abalwawo nga banywa okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze abo abazuukuka ku makya ne bakeera okunoonya ebyokunywa ebitamiiza. Banywa omwenge okuzibya obudde, ne gubalalusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abakeera enkya mu makya okugolokoka, bagoberere ekitamiiza; abalwawo ekiro okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa!