Isaiah 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balina ennanga n'entongooli ku binyumu byabwe, era n'obugoma, endere n'evviini; naye tebafa ku Mukama by'akola, yadde okwekkaanya emikono gye bye gikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere, n’omwenge ku mbaga zaabwe; naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda, wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge bibeera ku mbaga zaabwe. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaga zaabwe zibaako ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere n'omwenge. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola era tebabifaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge biri mu mbaga zaabwe: naye tebalowooza mulimu gwa Mukama, so tebannassa ku mwoyo okukola kw'engalo ze.