Isaiah 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo amagombe gaggulawo omumiro gwago, ne gaasamya akamwa kaago awatali kuddirira; abakungu ba Yeruzaalemu n'enkumu y'abantu balikkirira omwo wamu n'abaakyo ababeera mu ndasano n'ebinyumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagombe kye galiva gagaziya okwegomba kwago, ne gaasamya akamwa kaago okubamira. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n'abantu baabwe bangi ababadde bakola effujjo n'okukuba embeekuulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagombe kye galiva gabeegomba, ne gaasamya akamwa okubamira, abakungu baabwe n'abantu baabwe abangi ababadde bakuba embeekuulo nga basanyuka mu bo, bonna ne bakkirira omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagombe kyegavudde gagaziya okwegomba kwago, era gaasamizza akamwa kaago ekitayasamizika: n'ekitiibwa kyabwe n'obungi bwabwe n'oluyoogaano lwabwe n'oyo asanyuka mu bo bikka omwo.