Isaiah 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Omukama w'Amagye aligulumizibwa mu nnamula ye; Katonda omutukuvu aliraga bwali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama ow'eggye aligulumizibwa olw'obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw'ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama Nnannyinimagye agulumizibwa mu kusalira abantu omusango, era alaga obutuukirivu bwe, ng'akola ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Mukama ow'eggye agulumizibwa olw'omusango, era Katonda Omutukuvu atukuzibwa olw'obutuukirivu.