Isaiah 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo endiga zirirya ng'eziriira mu malundiro gaazo; obuliga n'obubuzi buliriira mu by'abagagga ebifuuse amatongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo, n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endiga ento ziryoke zirye ng'eziri mu malundiro gaazo, n'embuzi ento ziriire mu bifo ebyalekebwa awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga ento ziriira mu bifo ebyazika, nga bwe ziriira mu malundiro; era ebifo ebyo eby'abagevvu, abagwira balibyefunira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana b'endiga ne ziryoka zirya nga mu ddundiro lyazo, era ebifo ebyazika eby'abagevvu abatambuze balibirya.