Isaiah 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abo abaleetera ebibi ku nkoba z'obulimba, n'obwonoonefu ku miguwa gy'ebigaali,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abawalula ebibi byabwe, ng'abakulula ekigaali kye basibyemu omuguwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze abo abalemwa okuva mu bibi byabwe, ne bakulula ebibi nga bwe bakulula ekigaali kye basibyemu emiguwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abawalula obutali butuukirivu n'akagwa ak'obulimba, abawalula ekibi nga n'omugwa ogw'eggaali: