Isaiah 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagikabala n'agirondamu amayinja, n'asimbamu emizabbibu egy'embala. Yagizimbamu omunaala wakati, n'agisimiramu essogolero, n'alindirira ebale emizabbibu emirungi, naye yabala mizabbibu egikambagga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna, n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa. N’agisimamu n’essogolero n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalulima n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu emizabbibu emirungi ennyo, n'aluzimbamu wakati omunaala ogw'okukuumiramu, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira nti lunamubalira ezabbibu ennungi naye ne lumubalira ezabbibu ez'omu nsiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagikabala bulungi n'alondalondamu amayinja agaalimu, n'agisimbamu emizabbibu emirungi ddala. N'azimba wakati mu yo omunaala ogw'okukuumiramu, n'asimamu essogolero. N'asuubira ng'eneemubalira emizabbibu emirungi, kyokka n'emubalira gikaawa ng'egy'omu nsiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alusimira olusalosalo, n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu omuzabbibu omulungi ennyo nnyini, n'aluzimbamu wakati ekigo, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira lubale zabbibu, ne lubala zabbibu ez'omu nsiko.