Isaiah 5:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abo ekibi abakiyita ekirungi, n'ekirungi ekibi; n'abassaawo ekizikiza mu kifo ky'ekitangaala, n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza; abassa ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n’ekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, n’ekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n'ekirungi ne bakiyita ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'ekitangaala, n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza, era abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky'okuwoomerera, n'okuwoomerera mu kifo ky'okukaawa!