Isaiah 5:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga olw'enguzi, abasonyiwa alina omusango, ataliiko musango ne bamumma okwejjeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abejjeereza abatemu olw’enguzi era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi, era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baggya omusango ku babi olw'enguzi, omutuufu ne batamuwa kimusaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi; era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!