Isaiah 5:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo nno ng'olulimi lw'omuliro bwe lulya essubi, era ng'ebisusunku bwe biggweerera mu nnimi z'omuliro, n'ekikolo kyabwe bwe kirivunda kityo, n'ekimuli kyabwe bwe kirifumuuka ng'enfuufu; kubanga bagaya etteeka ly'Omukama w'Amagye, ne banyooma ekigambo ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda, era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye, era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ng'omuliro bwe gwokya ekisambu n'essubi ekkalu, bwe kityo ekikolo kyabwe bwe kirivunda, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ng'omuliro bwe gwokya ensambu n'essubi ekkalu, bwe bityo ne bye beesigamyeko bwe birivunda, ne bye bakola bwe birifuumuuka ng'enfuufu, kubanga baagaana amateeka ga Mukama Nnannyinimagye; banyooma ekigambo ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ng'olulimi lw'omuliro bwe lyokya ensambu, era ng'essubi ekkalu bwe likka mu muliro, bwe kityo ekikolo kyabwe kiriba ng'ekivundu, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.