Isaiah 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo obusungu bw'Omukama bweseredde ku bantu be; abagololeddeko omukono gwe n'abakuba. Ensozi zikankana, n'emirambo gy'abafu giri ng'obusa mu nguudo. Era olwa kino obusungu bwe tebunnaggwerayo ddala, era n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be, n’agolola omukono gwe n’abasanjaga, ensozi ne zikankana era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo. Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana era omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuukira ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gyabwe gisigale ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama asunguwalidde abantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gy'abo abattiddwa gisigale ng'ebisasiro mu nguudo. N'ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuuka ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubalumba, era abasse, ensozi ne zikankana; n'emirambo gyabwe ne giba ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, naye omukono gwe gukyagoloddwa.