Isaiah 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awanikidde eggwanga eriri ewala akabonero, alifuuyidde oluwa okuva ku nsonda y'ensi; liiryo lijjira ku mbiro, ku misinde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera, alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi, era laba, balyanguwako okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliwenya amawanga agali ewala, alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, era balyanguwa mangu okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alitemya ku b'omu mawanga agali ewala. Alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, ne banguwa mangu okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliyimusiza amawanga ebendera ng'ayima wala, alibakoowoola ng'ayima ku nkomerero y'ensi: era, laba, balyanguwa mangu okujja: