Isaiah 5:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusaale bwabwe bwogi, emitego gyabwe gyonna miwete, ebinuulo by'embalaasi zaabwe biri nga lwazi, ne nnamuziga z'ebigaali byabwe ziri ng'embuyaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusaale bwabwe bwogi, n’emitego gyabwe gyonna mireege. Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale, Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe bigumu ng'amayinja ag'embaalebaale, ne nnamuziga z'amagaali gaabwe zidduka nga mbuyaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusaale bwabwe bwogi, n'emitego gyabwo gyonna mireege. Ebinuulo by'embalaasi zaabwe, bigumu nga mayinja; ne nnamuziga z'amagaali gaabwe, zidduka nga mbuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe biribalibwa ng'amayinja ag'embaalebaale, ne bannamuziga baabwe nga kibuyaga;