Isaiah 5:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwuluguma kwabyo kuli ng'okw'empologoma; biwuluguma ng'obwana bw'empologoma; buvuuma nga bugwira omunyago gwabwo, ne bugutwala, tewali agubuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma, balikaaba ng’empologoma ento: weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe bagutwalire ddala awatali adduukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuwuluguma kwabwe kuliba ng'empologoma, ekutte omuyiggo gwayo, ne gutwalira ddala awatali addukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bawuluguma nga mpologoma ekutte ensolo gy'eyizze, n'egyetwalira kyere, ne watabaawo agiwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okulira kwabwe kuliba ng'empologoma, balirira ng'empologoma ento: weewaawo, balirira, balikwata omuyiggo gwabwe, ne bagitwalira ddala mirembe, so tewalibaawo aliwonya.