Isaiah 5:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo balivuumirako ng'ennyanja bw'evuuma; oli bw'alitunula ku nsi, aliraba nzikiza na nnaku; n'ekitangaala kiriddugazibwa ekire kyalwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe ng’ennyanja eyira. Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi, aliraba ekizikiza n’ennaku; n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olwo bwe lulituuka baliwuumira ku Isiraeri, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, n'ebire biriziyiza omusana okwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo bwe lulituuka, baliwuumira ku Yisirayeli, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, ng'ebire biziyizizza omusana okwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baliwuuma ku bo ku lunaku luli ng'ennyanja bw'ewuuma: era omuntu bw'atunuulira olukalu, laba ekizikiza n'ennaku, n'omusana guzikizibwa mu bire byalwo.