Isaiah 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kugizisa, nga tesalirwa yadde okulimibwamu, emeze enkandwa n'amaggwa; nzija na kulagira ebire bireme kutonnyesaamu nkuba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndigireka n’ezika, sirigirima wadde okugisalira. Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa. Ndiragira n’ebire obutatonnyesaamu nkuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nja kugizisa, terimwenga era tesalirwenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiragira ebire obutagitonnyesangako nkuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nja kugizisa: emizabbibu tegiisalirwenga, n'omuddo tebaagulimenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiziyiza n'ebire okugitonnyesangako enkuba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naaluzisa; tebaalusalirenga so tebaalulimenga; naye mulimeramu emyeramannyo n'amaggwa: era ndiragira ebire obutalutonnyesangako nkuba.