Isaiah 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro y'Omukama w'Amagye ey'emizabbibu ye nnyumba ya Yisirayeli, abantu ba Yuda bwe bulime bwe obumusanyusa; yasuubira butuufu, wuuno mulimu kuyiwa musaayi; yasuubira butuukirivu, wuuno mulimu miranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba ya Isirayiri y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu. Abantu ba Yuda y’ennimiro gye yasiima. Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennimiro ey'emizabbibu eya Mukama ow'eggye ye nnyumba ye Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubiramu bwenkanya, naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye alaba kujooga na kukaabya bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga lya Yisirayeli ye nnimiro y'emizabbibu eya Mukama Nnannyinimagye, n'abantu b'omu Buyudaaya, kye kirime kye yalima ekimusanyusa. Yabasuubiramu okukola eby'obwenkanya, naye bo baakola bya butemu. Yabasuubiramu okukola ebituufu naye baakola bya kukaabya bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olusuku olw'emizabbibu olwa Mukama ow'eggye ye nnyumba ya Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubira okusala ensonga, naye, laba, kujooga; obutuukirivu, naye, laba, kukaaba.