Isaiah 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abo abayunga ennyumba ku ginnaayo, abagatta ennimiro ku ndala okutuusiza ddala nga tewakyaliwo bbanga. Ne mwefunza ensi mwekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina, n’ennimiro ne muzongerako endala ne wataba kafo konna kasigadde, ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mulina, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi mugibeeremu mwekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mubadde nazo, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi ne mugibeeramu mwekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abagatta ennyumba n'ennyumba ginnaayo, abongera ennimiro ku nnimiro ginnaayo, okutuusa ebbanga lwe liggwaawo, nammwe n'okutuula ne mutuula mwekka wakati mu nsi!