Isaiah 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino kye yalayira nga mpulira nti: “Mazima ennyumba nnyingi zirisigala matongo, ennene n'ennungi ziribula asulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti, “Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ow'eggye alayidde nga mpulira nti, “ Mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, teziribeeramu azibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpulidde Mukama Nnannyinimagye ng'agamba nti: “Ennyumba zino zonna ennyingi, zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, tewaliba azibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu matu gange ayogera Mukama ow'eggye nti Mazima ennyumba nnyingi ziriba bifulukwa, ennene era ennungi, nga tewali azituulamu.