Isaiah 50:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ebbaluwa ya nnyammwe ey'obugobe eruwa kwe namugobera? Oba ku bawozi bange ani gwe nabaguza? Olw'okubeera ebibi byammwe kyemwava mutundibwa; olw'emisango gyammwe nnyammwe kyeyava agobebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani? Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? Oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ebbaluwa gye nawandiika okugobera ddala nnyammwe, eruwa? Oba ali ludda wa ammanja, gye nabatunda mmwe mube abaddu? Mwatundibwa lwa bibi byammwe, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ebbaluwa ey'okugoba nnyammwe eri ludda wa gye nnamugobya? oba aluwa ku abo abammanja gwe nnabaguza? Laba, olw'obutali butuukirivu bwammwe kyemwava mutundibwa, era okusobya kwammwe kwe kwagobya nnyammwe.