Isaiah 50:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani mu mmwe atya Omukama, awuliriza eddoboozi ly'omuweereza we? Ani atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala? Oyo yeesige erinnya ly'Omukama, yeesigame ku Katonda we?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ku mmwe atya Mukama, agondera ekigambo ky’omuweereza we? Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ku mmwe atya Mukama, agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu mu mmwe assaamu Mukama ekitiibwa era agondera ebigambo by'omuweereza we, ne bw'atambulira mu kizikiza nga talina kitangaala, yeesige Mukama, era anywerere ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ku mmwe atya Mukama; agondera eddoboozi ly'omuweereza we? atambulira mu kizikiza, nga talina musana, yeesige erinnya lya Mukama, era yeesigame ku Katonda we.