Isaiah 50:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno mmwe mwenna abakoleeza omuliro, abenyweza n'ebitawuliro by'omuliro, mutambulire mu kitangaala ky'omuliro gwammwe ne ku bitawuliro bye mukoleezezza. Kino kye mujja okufuna okuva mu mukono gwange: mugenda kugalamira mu bibonoobono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, ne mwekoleereza ettaala z’omuliro, mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe, ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; muligalamira mu nnaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna; mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza. Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe, mmwe mwenna abakola enkwe okuzikiriza bannammwe, mmwe mulyezikiriza mwekka mu nkwe zammwe. Ekyo Mukama yennyini ye alikituukiriza, ne mufiira mu bulumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mmwe mwenna abakuma omuliro, abeesiba emimuli enjuyi zonna: mutambulire mu nnimi z'omuliro gwammwe, ne mu mimuli gye mukoleezezza, Ekyo kye muliweebwa mu mukono gwange; muligalamira nga munakuwadde.