Isaiah 50:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale lwe najja, lwaki tewaali muntu n'omu? Bwe nakowoola, lwaki waabulawo annyanukula? Omukono gwange guyimpawadde nnyo, tegusobola kununula? Mbuliddwa maanyi gabawonya? Mulabe, bwe mboggola, ennyanja ne ngikaza; emigga ne ngifuula eddungu; ebyennyanja byamu olw'ebbula ly'amazzi bivunda ne bifa ennyonta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu? Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula? Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula? Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira, emigga ne ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki bwe nnajja tewaali muntu n'omu? Bwe nnayita lwaki tewaali muntu n'omu annyanukula? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? Oba sirina maanyi n'akatono gakuwonya? Laba olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja, emigga ngifuula eddungu; ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe najja okubawonya lwaki saasangawo muntu n'omu? Nayita ne wabulawo ampitaba. Omukono gwange gwe mumpi ne gutasobola kubanunula? Oba mbuliddwa amaanyi nga sisobola kuwonya? Mulabe, bwe nkabukira ennyanja, ekala. Emigga ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu olw'okubulwa amazzi, ne bifa era ne biwunya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnajja, kyewava walema okubaawo omuntu ki? bwe nnayita, tewaali eyandiyitabye? Omukono gwange guyimpawadde ne gutayinza n'akatono kununula? oba sirina maanyi n'akatono ga kuwonya? Laba, olw'okunenya kwange nkaliza ennyanja; emigga ngifuula eddungu: ebyennyanja byamu ne biwunya, obutabaawo mazzi, ne bifa ennyonta.