Isaiah 50:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olubaale ndwambaza enzikiza, ne ndukolera ekikutiya nga kye kizibawo kyalwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nyambaza eggulu, n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggulu nnyinza okuliddugaza, ne liba nga lye nnyambazza ebikutiya okukungubaga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyambaza eggulu obuddugavu, era ndibikkako ebibukutu.