Isaiah 50:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yampa olulimi lw'abayigirizwa, mmanye ebigambo ebinyweza ayenjebuse; okutu kwange akuzuukusa buli makya kuwulire ng'okw'abayigirizwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye; anzuukusa buli nkya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda anjigiriza bye nnaayogera okugumya oyo akooye. Anzuukusa buli nkya, n'anzigula amatu okuwulira by'aba agenda okunjigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda ampadde olulimi lw'abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n'ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya; azuukusa okutu kwange okuwulira ng'abo abayigirizibwa.