Isaiah 50:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda annyamba, kyenvudde nnema okuswala. N'olw'ekyo obwenyi bwange mbwegeseewo ng'olwazi, era mmanyi sijja kuswazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa. Noolwekyo kyenvudde n’egumya era mmanyi nti siriswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda yannyamba; kyennava nnema okuswazibwa; kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obujoozi bwabwe sibufaako, kubanga Mukama Afugabyonna ajja kunnyamba. Nneevaamu ne mbugumira, nga mmanyi nti sijja kuswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda alinnyamba; kyennava nnema okuswala: kyenvudde nteeka amaaso gange ng'ejjinja ery'embaalebaale, era mmanyi nga sirikwatibwa nsonyi.