Isaiah 50:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wuuyo y'annyamba, ani anansingisa omusango? Anti bonna bajja kuggweerera ng'ekyambalo; ennyenje zigenda kubalya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; ennyenje ziribalya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yennyini Afugabyonna wuuno ye antaasa, ate ani alinsalira omusango okunsinga? Bonna balikaddiwa ng'ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama Katonda ye alinnyamba; ani oyo alinsalira omusango? laba, bonna balikaddiwa ng'ekyambalo; ennyenje eribaliira ddala.