Isaiah 51:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumpulirize mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Omukama: Mutunuulire olwazi kwe baababajja, n'ekirombe mwe mwawuukuulwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama; mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'ekirombe ky'amayinja mwe mwasimibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mumpulire mmwe abagoberera eby'obutuukirivu; mmwe abannoonya Nze Mukama. Mulowooze ku lwazi kwe mwatemebwa, n'ekirombe ky'amayinja mwe mwasimibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'obunnya bw'obuya bwe mwasimibwamu.