Isaiah 51:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ggwe wakaliza ennyanja n'amazzi ag'omu ddubi, eyatema ekkubo mu buziba bw'ennyanja be wanunula basomoke?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo ne gafuuka ekkubo abantu be wanunula bayitewo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye Ggwe eyakaliza ennyanja, n'ogabanyaamu amazzi gaayo amangi, n'oteerawo abantu bo abanunuliddwa ekkubo okusomokeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu?