Isaiah 51:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanunule b'Omukama balikomawo, baliyingira mu Siyoni nga bayimba, essanyu ery'olubeerera nga balyetisse ku mitwe gyabwe; balifuna okujaganya n'essanyu; ennaku n'okusinda biriddukira wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale n'abo, ayi Mukama, b'onunudde, balikomawo e Siyooni nga bajja bayimba olw'essanyu. Balijaguza ne basagambiza, era essanyu lyabwe teririggwaawo; yo ennaku n'okusinda, biriggweerawo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuumi n'okuyimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.