Isaiah 51:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze, nze kennyini, nze mukubagiza wammwe. Oyinza otya okutya omuntu obuntu ow'okufa, omwana w'omuntu omuddo obuddo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa; ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nze Nzennyini, Nze mbabudaabuda mmwe. Kale lwaki otya omuntu obuntu alifa n'aggwaawo ng'omuddo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;