Isaiah 51:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne weerabira Omukama Eyakukola, eyabamba olubaale, eyabangawo ensi, n'odda mu kutya buli olukedde obusungu bw'oyo akulabya ennaku, agenderera okuzikiriza? Kale obusungu bw'oyo akulabya ennaku buli ludda wa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n’ateekawo n’emisingi gy’ensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bw’abo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne weerabira Mukama omutonzi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weerabidde Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi? Bulijjo ozibya obudde ng'otya obukambwe bw'abakujoonyesa, abateekateeka okukuzikiriza. Kale kaakati obukambwe bwabwe bukyali ludda wa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?