Isaiah 51:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abasibe abeegose bajja kusumululwa mangu, tebajja kufiira mu nkomyo yadde okuggwebwako emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, tebalifiira mu bunnya, era tebalibulwa mmere gye balya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa kukka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo eyawambibwa era anyigirizibwa anaatera okuteebwa. Tajja kufa kaakano kukka magombe, era tajjanga kubulwa mmere gy'alya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n'akka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.