Isaiah 51:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nassa ekigambo kyange mu kamwa ko, ne nkukweka mu kisiikirize ky'omukono gwange, nze eyassaawo olubaale, eyabangawo ensi, era agamba Siyoni nti: ‘Mmwe bantu bange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti, “muli bantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nateeka ebigambo byange mu kamwa ko era ne nkuwanirira mu mukono gwange. Nabamba eggulu, ne nteekawo emisingi gy'ensi, ne ŋŋamba ab'omu Siyooni nti: ‘Mmwe bantu bange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange.