Isaiah 51:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zuukuka, zuukuka, situka, ggwe Yeruzaalemu, ggwe ayanywera mu kibatu ky'Omukama ekikompe ky'obusungu bwe, ggwe eyanywa n'okutuuka ku bbonda endeku ereetera abantu okuzunga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe, eyanywa n’omaliramu ddala ekibya ekitagaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obusungu bwe; wanywa n'omaliramu ddala ekikompe eky'okutagatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sisimuka ggwe Yerusaalemu, zuukuka oyimirire! Wanywa ekikopo eky'okubonaabona Mukama mu busungu bwe kye yakuteeka ku mumwa, n'okinywa n'okyekatankira ne kikuleetera okutagatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obukaali bwe wanywa ku kibya eky'ekikompe eky'okutagatta n'okikutankira.