Isaiah 51:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubenje bwa mirundi ebiri bukugwiridde, ani anaakunakuwalirako? Kuvunjagibwa na kuzikirira, njala na kitala; ani anaakukubagiza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu bino ebibiri bikuguddeko ani anaakunakuwalirako? Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala, ani anaakubeesabeesa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? Okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; ani anaakusanyusa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino byombi bikuguddeko: ensi yo eyonooneddwa olutalo, abantu bo ne bafa enjala. Ani anaakukubagiza? Ani anaakubudaabuda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; n'akusanyusa ntya?