Isaiah 51:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye Yiburayimu jjajjammwe ne Saara eyabazaala. Kubanga namuyita ng'ali bw'omu, ne mmuwa omukisa, ne mmuwa okwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bw’omu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutunuulire Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala; kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowooze ku Aburahamu ne Saara bajjajjammwe mwe mwasibuka. Bwe nayita Aburahamu, teyalina mwana, kyokka ne mmuwa omukisa ne mmwaliza ezzadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza.