Isaiah 51:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga Batabani bo bagudde eŋŋanzi, balambaalidde ku buli luguudo we lukoma, ng'engabi mu kitimba, bajjudde obusungu bw'Omukama, n'okuboggola kwa Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bo bazirise, bagudde ku buli nsonda y’oluguudo ng’engabi egudde mu kitimba. Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama, n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; babuutikiddwa obusungu bwa Mukama, n'okunenya kwa Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo bazirise era bagalamidde mu buli kasonda ka nguudo. Bali ng'engabi ekwatiddwa mu kitimba ky'omuyizzi. Bavuunikiddwa obukambwe bwa Mukama, obusungu bwe babuwuliddemu omusera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo.