Isaiah 51:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino Mukama Omuyinza ky'agamba, Katonda wo awolereza abantu be: “Laba, nzigye mu mikono gyo ekikompe ekyakuzunza; tokyaddayo kunywa ku ndeku eyo, ekikompe ky'obusungu bwange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wo alwanirira abantu be. “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. Temuliddayo kukinywa nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nzigye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kikompe eky'obusungu bwange; tolikinywako nate;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, era Katonda wammwe abataasa mmwe abantu be, agamba nti: “Mbaggyeeko ekikopo kye nabawa mu busungu bwange. Temukyaddayo kukinywa ne kibaleetera okutagatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kibya eky'ekikompe eky'obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri: