Isaiah 51:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ŋŋenda kukissa mu ngalo z'abaakubonyaabonya, abaakugambanga nti: ‘Weeyale wansi tukubuuke,’ n'oteekawo omugongo gwo ng'ettaka, ng'oluguudo olw'okutambulirako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti, ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka, ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaabagamba nti, “ Mugwe wansi tubatambulireko,” naawe n'oteekawo omugongo gwo okuba ng'ettaka era okuba ng'oluguudo eri abo abayitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekikopo ekyo ndikikwasa abo abaababonyaabonya mmwe, abaabagamba nti: ‘Mweyale wansi tuyite ku mmwe tugende!’ Nammwe ne muteekawo emigongo gyammwe gibe ng'ettaka, n'oluguudo abo abayitawo kwe batambulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n'oteekawo amabega go ng'ettaka era ng'oluguudo eri abo abayitako.