Isaiah 51:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala, Omukama alikubagiza Siyoni, alikwatirwa ekisa ebifulukwa bye byonna; eddungu lyakyo alirifaananya Edeni, olukoola lwakyo, ng'ennimiro y'Omukama. Essanyu n'okujaganya birikisangibwamu, ko okwebaza n'eddoboozi ery'ennyimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama; Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama alisanyusa Sayuuni; alisanyusa ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Edeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabikira omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nja kubudaabuda Siyooni, n'ebifo byakyo byonna ebyayonoonebwa. Ebitundu byakyo ebifuuse eddungu ndibifuula ng'ennimiro y'e Edeni, ng'ennimiro yange yennyini gye nneerimira. Essanyu n'okujaganya bye biribeera eyo, n'okwebaza, n'amaloboozi ag'okutendereza
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.