Isaiah 51:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumpulirize mmwe abantu bange, muntegere okutu, mmwe abantu bange, kubanga etteeka lirisibuka gye ndi, n'ennamula yange ndigissaawo okumulisa amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu mmwe ensi yange. Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange; kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulirize kye ŋŋamba mmwe bantu bange. Mmwe ab'Eggwanga lyange, muntegere amatu. Nditeekawo amateeka gange gayigirize ab'amawanga gonna obwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga.