Isaiah 51:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu bwange busembera na misinde, okulokola kwange kweyerudde; emikono gyange giriramula amawanga. Ebizinga birisuubiranga mu nze, ne birindirira omukono gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obutuukirivu bwange busembera mangu nnyo, obulokozi bwange buli mu kkubo. Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndijja mangu ne mbanunula. Ekiseera kyange eky'okuwanguliramu kituuse. Nze Nzennyini Nze ndifuga amawanga, n'ensi ez'ewala zinnindirira okujja ng'essuubi lyazo liri mu Nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga.