Isaiah 51:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musitule amaaso, mutunuulire eggulu, ate mutunuulire ensi wansi; eggulu liriggwaawo ng'omukka n'ensi eriggwerera ng'ekyambalo, n'abagirimu balifa ng'ensowera, naye okulokola kwange kulibeerawo emirembe gyonna, n'obutuukirivu bwange tebugenda kukoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. Abagituulamu balifa ng’ensowera. Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi; kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo; naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi. Eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abagibeeramu bwe balifa bwe batyo. Naye obununuzi bwange bwe ndeeta bunaabeerangawo ennaku zonna, n'obufuzi bwange obw'obwenkanya bunaabanga bwa lubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.