Isaiah 51:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumpulire mmwe abamanyi obutuukirivu, mmwe abantu abalina etteeka lyange mu mutima; temutyanga kujolongebwa bantu, temutekemukanga olw'ebivumo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mitima gyammwe. Temutya kuvumibwa bantu wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kw'abantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe abamanyi ekituufu era abakuuma amateeka gange ku mutima, muwulirize kye ŋŋamba. Temutyanga kunyoomebwa bantu, era temuterebukanga bwe babavumanga;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.