Isaiah 51:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ennyenje egenda kubalya ng'ekyambalo, envunyu egenda kubasenkenya ng'ebyoya by'endiga; kyokka obutuukirivu bwange bulibeerawo emirembe gyonna, n'okulokola kwange kulibaawo mu mazadde n'amazadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo. N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga. Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna. Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennyenje eribaliira ddala nga bwerya ekyambalo, n'enkuyege eribalya nga bwerya ebyoya by'endiga; naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga balyonooneka ng'ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje oba enkuyege. Naye obununuzi bwange bunaabeerangawo ennaku zonna, n'obuwanguzi bwange bwa kubeerangawo emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng'ekyambalo, n'enkuyege eribalya ng'ebyoya by'endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.